Meteorite logoMeteorite
Back to videos

Ebbago kw’akulira oludda oluganya lisomeddwa mu palamenti omulundi ogusooka

Sipiika wa Palamenti Jacob Oboth akkiriza ebbago ly’eteeka erigenda okukola enongosereza mu ngeri akulira oludda oluvuganya gy’analondebwamu n’okujjibwamu obwesige singa kiba nga kyetaagisizza.Kyoka ebbago lino kata lireme okusomwa omulundi ogusooka , bwekizuuse nga kalitembeeta Denis Namara tanafuna bweyamo okuva eri minisitule y’ebyensimbi nti ebbago lino singa liyisibwa enongosereza gyerinareeta yakuzivujjirira kiyite Certificate of Financial Implications.Kati ebbago lino liwerezeddwa eri akakiiko k’ebyamateeka okulyekkanya mu nnaku 45 , kakole alipoota egenda okusinzirwako okwongera okukubaganya ebirowoozo ku bbago lino omulundi ogwokubiri. #NTVNews #Akawungeezi For more news visit http://www.ntv.co.ug Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda

Suggested videos